Ebyobulamu

Twetaaga kulondoola ddagala- minisitule

Ali Mivule

April 9th, 2014

No comments

Drugs

Minisitule ekola ku byobulamu ayagala nsimbi za kutondawo ekiwayi ekyetongodde okulondoola eddagala erisindikibwa mu malwaliro.

Omuwandiisi mu minisitule eno, Dr Samuel Kyambadde agamba nti eky’okubeera n’ekiwayi ky’eddagala naye nga tekiriiko alondoola kuba kwoza n’oyanika mu ttaka

Kyambadde abadde mu kakiiko ka palamenti akakola ku byamateea mu kusooka bamukunyizza ku bubbi bw’eddagala obweyongera buli lukya naddala mu malwaliro aga wansi.

Ono agamba nti mu kadde kano bayimiridde ku kiwayi ky’ebyobulamu ekirondoola empeereza mu byobulamu kyokka nga kino kirina kukola ku maka ga mukulembeze wa ggwanga gokka.