Ebyobulamu
Ebola ayongedde okutabuka
Omuwendo gw’abantu abafa obulwadde bwa Ebola mu ggwanga lya Guinea guyise mu 100.
Ab’ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna bagamba nti obulwadde buno bwebumu ku buzibu bwebakasinga okukolako bukyanga babaawo.
Ab’ekibiina kino bagamba nti kyakubatwaalira emyezi emirala ena okutangira obulwadde buno okwongera okubuna
Obulwadde buno bwakatta abantu 101 mu Guinea ate nga mu Liberia kati bali 10.
Obulwadde buno obutawona buva kun solo okukwata omuntu olwo n’abantu nebatandika okubwesiiga
Amawanga g’obuvanjuba bwa Africa mangi gagabana ensalo ng’abantu bakola kyeere ekyanguya obulwadde buno okutambula