Ebyobulamu
Engatto empanvu mbi ku b’olubuto
Abakyala abambala engatto empanvu nga bali lubuto bassa obulamu bwaabwe mu matigga
Abasawo bagamba nti omuntu omuzito okwambala engatto empanvu kyangu okuyiguka ebinywa n’okulemesa omwana okutambula n’atuula wamu.
Omusawo mu leeba e Mulago, Sarufiina Tunomuhangi agamba nti kino kikosa n’entambula y’omusaayi mu magulu
Tunomuhangi agamba nti eno y’ensonga lwaki abakyala abamu bafuna ebizibu mu kuzaala abamu nebabulwa n’amaanyi agasindika abaana
Abali embuto abawa amagezi bulijjo okwambala obugatto obuli wansi okwewala ebizibu bino byonna.