Ebyobulamu
Eddagala ffu
Ebikumi by’enkumi z’obukadde bw’ensimbi zeezononeddwa ku ddagala eritayalina njawulo na panadaol
Eggwanga lya Bungereza lyokka lyakonoona obukadde bwa pawunda 473 ku ddagala erimanyiddwa nga Tamifulu nga lino lyakolebwa kuyamba ku senyiga.
Eddagala lino nga ligulwa gavumenti ezitali zimu okutegekera abantu
Ababadde banonyereza ku ddagala lino bakakasizza nti teritangira ssenyiga oba okuwonya abo abamulina.
Wabula bbo abakola eddagala lino bagamba nti abakoze okunonyereza kirabika baakoze ensobi
Eddagala lino lyakolebwa mu mwaka gwa 2006 mu ggwanga lya Bungereza okwetegekera obulwadde bwa senyiga w’ebinyonyi obwaali butaamye mu kaseera ako.