Amawulire
Nyombi awanguddwa mu lutalo olusoose- Gusalwa nga 24
Ssabawolereza wa gavumenti amateeka gongedde okumutabukira nga abalamuzi abataano abakulembeddwamu omulamuzi Esther Kisakye bagaanye okusaba kwe okwemulugunya kwa loodi meeya kugobwe.
Bano bategezezza nga ono bwalameddwa okubawa ensonga ematiza ddala lwaki bagoba okusaba kwa loodi meeya Lukwago era nebatekawo ennaku z’omwezi nga 24 April kwebagenda okusalawo ku kujulira kwa Lukwago nga awakanya okugobwa mu ofiisi nga okujulira kwe okwasooka kukyali mu kooti enkulu.
Ssabawoleza wa gavumenti Peter Nyombi yategezezza kooti eno ensukulumu nti okusaba kwa loodimeeya Erias Lukwago kugobwe kubanga yakukola mu bukyaamu.
Nyombi yagambye nti okusaba kuno okuli mu kkooti y’okuntikko si kutangaavu era nga tekulina kakwate ku byava mu kkooti ejulirwaamu.
Ono yagambye nti nti okusalawo okukoleddwa omulamuzi omu tekujulirwaako mu kkooti y’okuntikko ga Lukwago yandibadde awaaba mu kkooti ejulirwaamu yenyini , abalamuzi abalala nebawulira omusango gwe
Nyombi yakiikiriddwa Martin Mwambusha era nategeeza nti Lukwago tajulirangako okujjako okuwaayo ekiwandiiko ekiraga nti alina ekigendererwa ky’okujulira nga kino yakissa mu kkooti ejulirwaamu.
Twogeddeko nomu ku bannamateeka ba Lukwago Medard Lubega Ssegona amangu ddala nga kooti esaewo olunaku lwokusalawo ku nsonga eno.