Ebyobulamu
Omusujja gw’ensiri kikyaali kizibu
Gavumenti eweereddwa amagezi okutendeka ab’obukiiko bwekyalo ab’ebyobulamu abajja okutendeka abalala engeri y’okulwanyisamu omusujja gw’ensiri n’okugwewalamu.
Okusinziira ku Doctor Rose Katushabe owa Miracle clinic e Wandegeya, abantu banji n’okusingira ddala ababeera mu bifo by’enzigotta tebamanyi mugaso gw’okusula mu butimba bw’ensiri kale nga banji bafudde.
Katushabe agamba singa obukiiko buno butendekebwa, bwakuyamba abantu okutendekebwa engeri y’okulwanyisamu omusujja guno.
Malaria atta abantu abasukka mu kakadde buli mwaka.