Ebyobulamu
Amata amabisi galwaaza
Amata kikulu nnyo eri obulamu bw’omuntu naye obadde okimanyi nti gano ate gayinz aokufuuka kanaluzaala
Amata agatali mafumbeko geegasinga okuba ag’obulabe nga gano galwaaliza ddala.
Dr Charles Kasozi okuva mu ddwaliro e Mulago agamba nti endwadde omuli ey’okuzimba omubiri, omusujja gw’omubyenda, ekiddukano n’endwadde endala nyingi biva mu kunywa amata amabisi
Dr Kasozi agamba nti amata gano amabisi gabaamu obuwuka nga buno bunafuya omubiri gw’omuntu buli lw’aganywa
Gano nno gasinga kukosa bakadde, abakyala abali embuto n’abaana
Musawo agamba nti omuntu yenna yandibadde yeeyunira amata amapakire kubanga ggo tegalwaaza.