Ebyobulamu
Omusujja gw’ensiri kikyaali kizibu mu bukiikakkono
Obulwadde bw’omusujja gw’ensiri bwebwakasinga okutta abantu mu bukiikakkono bw’eggwanga
Kino kiva ku nsonga nti abantu bangi omusujja guno tebagutwaala ng’ekikulu era nga bakola kitono okuguziyiza.
Omuwi w’amagezi ku nsonga z’omusajja gw’ensiri Enisa Mulwana agamba nti ku bantu ekikumi beebajjanjaba okuva ebweru ne munda, ebitundu nkaaga babeera balina omusujja gw’ensiri
Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu, omusujja guno gutta abantu emitwaalo 10 buli mwaka.