Ebyobulamu
Mgeme abaana
Abazadde bawereddwa amagezi okutwala abaana baabwe bagemebwe ekirwadde kya pneumonia kubanga kati amalwaliro gonna mu kampala kati eddagala erigema obulwadde buno galirina.
Akulira eby’obujanjabi obwabulijjo Doctor Ruth Aceng agamba nti abaana 14 kubuli kikumi wano mu kampala balwala pneumonia buli mwaka.
Wabula agamba nti kino kisobola okuggwawo singa abaana batwalibwa nebagemebwa.