Ebyobulamu
Poliiyo wa bulabe
Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulambu kirangiridde nti obulwadde bwa poliyo obutabuse ennaku zino bugenda kussa ebyobulamu ku katyabaga era ng’ekya mangu kirina okukolebwa
Kiddiridde obulwadde buno okubalukawo mu mawanga agatali gamu ku ssemazinga wa Asia, Africa ne mu kyondo ky’amawanga ga buwarabu.
Ekibiina kino kiragidde nti abantu okuva mu mawanga gonna agakoseddwa babeera nga batambula n’ebibal;uwa ebiraga nti bageme oba ssi kyo babakomeko okutambula
Ekibiina kino kigamba nti Pakistan, Cameroon ne Syria geegasinze okukosebwa
Obulwadde bwa Poliyo bukosa baana abali wansi w’emyaka etaano.