Ebyobulamu

Emotoka z’abalwadde tewali

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

ambulance

Obuzibu bw’emmotoka ezitambuza abalwadde e Pallisa butandise okweralikiriza abakulembeze mu kitundu kino.

Abalwadde bangi naddala abakyala b’embuto batindigga engendo okutuuka mu malwaliro nga n’oluusi bafuna ebizibu.

Omubaka akiikirira abantu be Pallisa, Jacob opolot agamba nti abantu bangi y’ensonga lwaki beepena amalwaliro nebadukira mu basawo b’ekinnansi.

Omubaka ono wetwogerera ng’awaddeyo emmotoka okuyambako mu kutambuza abalwadde kyokka ng’agamba nti wakyaliwo obwetaavu bw’emmotoka endala wakiri bbiri okukendeeza ku bizibu.

Asabye gavumenti okuyambako mu kulaba nti abalwadde bayambibwa n’okusikirizibwa okugenda mu malwaliro naddala abo abayi.