Ebyobulamu

Hepatitis B aremedde e Kasese

Ali Mivule

June 3rd, 2014

No comments

hepatitis

Obulwadde bw’ekibumba obumanyiddwa nga Hepatitis B, obwakwata abe Kasese temukwatiddwa mu ngeri ematiza

Dr. Fredrick Businge agamba nti ab’obuyinza mu district eno tebakoze kimala kuyambako kusomesa bantu ku ngeri y’okwewalamu ekirwadde kino.

Ono agamba nti mu kibuga kye Kasese kyokka, abantua baweza ebitundu 64% tebamanyi bikwata ku bulwadde buno nga n’obubonero bwenyini kw’obulabira tebabumanyi

Dr. Businge era aagamba nti abakulembeze ku disitulikiti balina okukolagana n’ab’ebyobulamu okulaba nti abantu bamanya bisingawo ku bulwadde buno.

Wetwogerera ngekibiina kya Mama Centenary Community Support program kiri mu kawefube w’okukebera abantu ekirwadde kino ng’abantu abasoba mu 600 bakebeddwa

Akulira ekibiina kino Robert Centenary agamba nti mu bantu bonna beebakebedde 10 beebasanze n’ekirwadde kino.