Amawulire
Tunyikkize ebyobulimi- Museveni
Pulezidenti Museveni azzeemu okukkatiriza nga bwewaliwo obwetaavu bw’okukola ebyamaguzi ebisobola okuvuganya ku katale k’ensi yonna.
Ng’ayogerako eri eggwanga ku mukolo ogukyagenda , pulezidentia gambye nti Uganda tannafuna bulungi mu bintu by’ekola naddala ebiva mu nnimiro ng’emwanyi kubanga tebituukagana na mutindo.
Pulezidenti agamba nti abalowooza ku nkulakulana nga kino tekinnabaawo babyerabire.
Pulezidenti era ategeezezza nti Uganda eri mu nteseganya ne gavumenti ya Japan okufuna ebyuuma ebinene ebinayamba mu kukola enguudo engazi
Pulezidenti agambye nti ebyuuma bino era bijja kuyamba ne mu kusima ebiziba n’okusaawa ensiko
Ono era agambye nti ebyobulimi bikuze n’ekitundu kimu n’ekitundu omwaka oguwedde n’asaba abalimi okuva ku kulima emmere yaw aka wabula batundeko okusobola owkefunira ku nsimbi.
Ng’aggulawo omukolo, sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga yenyamidde olwa gavumenti okulwaawo okukola ennongosereza mu mateeka g’ebyokulonda
Kadaga agambye nti kino kyolekedde okukosa emirimu gya palamenti
Okwogera kwa pulezidenti Museveni kulese bangi boogera era nga buli omu awa ndowooza yiye
Akulira abavuganya Wafula Oguttu agambye nti okwogera kwa pulezidenti tekubadde kupya kubanga tekulambise ggwanga ku kiki abantu kyebaba basuubira
Ssabawolereza wa gavumenti erinze obuyinza Abdu Katuntu agamba nti okwogera kwa pulezidenti tekukyalina makulu nga bagaala buli kimu kirambikibwe ku biki ebiba bikusuubirwamu