Amawulire

Katikkiro atikkudde Monitor, Dembe ettofaali

Ali Mivule

June 10th, 2014

No comments

Katikkiroo at Monitor 2

Katikkiro wa Buganda owekitiibwa Charles Peter Mayiga akuutidde bannamawulire naddala okuva mu monitor publications okukola nga tebaliimu kyekuubiira n’okukulembeza amazima mu buli kimu.

Bw’abadde atikkula abakozi ba Monitor omuli n’aba Dembe FM ettofaali, katikkiro agambye nti abantu bangi balina essuubi mu mikutu gya monitor kale nga okubalyaamu olukwe kiba kikyaamu.

Mayiga agambye nti okwetongola kw’amawulire kikulu era mpagi luwaga mu kuzimba demokulasiya n’enkulakulana.

Mu ngeri yeemu era katikkiro asabye ab’amawulire okusosowaza ensonga za Buganda kubanga abantu bakoowa eby’obufuzi nga basing kwagala nsonag za bantu.

Yye akulira olukiiko olutwala Monitor publications, Simon Kagugube agambye nti kkampuni eno yakusigala ng’ekolagana ne Mengo mu kuleetawo enkulakulana mu ggwanga.

Asiimye Katikkiro olw’omulimu gw’akoze mu kulaba nti buli Muntu yenyigira mu kukulakulanya Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.

Obukadde musanvu bwebusondeddwa okuva mu bakozi n’abaddukanya kkampuni ya Monitor publications.