Ebyobulamu

Abakozesa kkondomu batono

Ali Mivule

June 10th, 2014

No comments

Condom day distributor 2

Abali mu lutalo lw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya benyamidde olw’omuwendo gw’abantu abafuna obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga

Ng’ayogerako eri bannamawulire mu kibuga, omukulu okuva mu kibiina kya Pharmaceutical Society of Uganda, Brian Bagyenda agambye nti obulwadde bwa mukenenya bungi nnyo mu bavubuka ate nga bangi tebamanyi na ngeri ya kubulwanyisaamu.

Bagyenda agamba nti yadde gavumenti efubye okusomesa abantu ku kubeera abeesigwa, okukozesa kondomu kko n’okwewala ebikolwa by’okwegatta, okukozesa kkondomu kukyaali wansi nnyo.

Omukulu ono asabye abali mu byobulamu okukubiriza abawala n’abakyala okukozesa kondomu era nga bbo batandikiddewo kawefube ono mu bantu.