Ebyobulamu
Ennyaanya nungi ku mutima
Okulya enyaanya ng’eriko oluliba lwaayo nga mbisi kiyamba okukuuma omutima nga mulamu bulungi
Abazudde bino bannasayansi okuva mu Bungereza.
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bantu 72 abaawuddwaamu emirundi ebiri, abamu nebaweebwa enyaanya ate abalala nebaweebwa eddagala.
Kyeraze bulungi nti ababadde balya enyaanya emitima gyaabwe gyabadde miramu bulungi yadde nga tebagasseeko ddagala.
Kati abakugu bano bagenda kwongera okwekebejja ekiri mu luliba lw’enyaanya okwongera okulaba oba liyinza nandi ki n’okukolebwaamu eddagala ly’emitima.