Amawulire
Minista Kuteesa y’akulira olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte
Kyaddaaki minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa akakasiddwa ku bwa pulezidenti w’olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte.
Kuteesa yalondeddwa mu kibuga Newyork mu kiro ekiyise amawanga 193 nga wakubeera mu kifo kino omwaka mulamba.
Yadde nga abamu ku ba seneta b’eggwanga lya Amerika baabadde bamusimbidde ekkuuli olw’etteeka ly’ebisiyaga eryayisibwa mu ggwanga, abalala tebakirabyemu nsa kulemesa Kuteesa kwetwalira gufo guno.
Amangu ddala nga yakakakasibwa, Kuteesa yasabye olukiiko luno okwemalira enyo mu kulwanyisa obwavu n’enjala munsi yonna.
Kuteesa yazze mu kifo kya pulezidenti wa Antigua and Barbado’s John Ashe nga era wakutandika emirimu gye mu mwezi gwa September.