Ebyobulamu

Dr Ssali talina musango- Kkooti

Ali Mivule

June 12th, 2014

No comments

Dr Edward SSali

Omusawo omukugu mu by’okuzalisa  Dr. Tamale Ssali alya butaala.

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road  Olive Kazarwe amwejerezza emisango gy’okulagajalira omulwadde naafa bwategezezza nga obujulizi obwaletebwa bwebubadde tebumatiza.

Kazarwe ategezezza nga Doctor Ssali bwatali mukugu mu ndwadde z’ebizimba mu bakayala naye nga omulimu gwe okwolondoola buli kimu ekyali kikolebwa ku mukyala eyafa yakikola nga bwekyali kyetagisa.

Omulamuzi era yejjerezza  ne Dokita  Christopher Kirunda abadde avunanibwa ne Dokita Ssali bwatagezezza nga naye bweyafuba okulaba nti ebyuuma ebyali bikozesebwa okulongoosa omukyala byali mu mbeera nungi.

Ababiri bano babadde bavunanibwa musango gwakulagajalira mirimu gyaabwe ekyavirako omukyala Mercy Ayiru okufiira mu ddwaliro lyabwe wali e Bukoto mu October wa 2010.