Amawulire

Embaliririra- amafuta, Mobile money ne sukaali birinnye

Ali Mivule

June 12th, 2014

No comments

budget maria

Embalirira y’eggwanga mulindwa olwaleero esomeddwa ng’eri b’erese nga basanyufu ate abalala nga bakaaba

Mu basanyufu mwemuli abakozi ba gavumenti aboongezeddwa emisaala

Wabula embalirira eno ezze n’emisolo emipya kko n’okuzuukusa emikadde egyajjibwaawo.

Mu gizuukuse mwemuli egijjibwa ku kompyuta, ku nsigo n’emijimusa, ba nnayini bawooteri nabagasulamu ne ku balunzi

Ebintu nga Mobile Money, Sukaali, amafuta g’emmotoka, okukubisa empappula, okutereka n’okujjayo ensimbi mu banka byongeddwaako omusolo

Ebibiina ebiwola ensimbi abalimi nabyo kati bakusasula omusolo  nga n’amagoba genyini gakujjibwaako omusolo.

Mu byenjigiriza,

Obuwumbi 1,699 bwebutekeddwaamu nga zino zizingiramu ng’enyongeza mu misaala gy’abasomesa

Ebibiina eby’obwegassi eby’abasomesa nabyo bissiddwaamu obuwumbi 5

Mu byobulamu

Ebyobulamu, obuwumbi 1,197 zeezissiddwaawo

Mu bikulu ebigenda okukolebwa, amalwaliro amakulu mu ggwanga gagenda kugaziyizibwa.

Mu ngeri yeemu n’amayumba g’abasawo gagenda kuzimbibwa okuyamba okukendeeza ku basawo aboosa olw’engendo empanvu.

Kkyo

Ekitongole ekikola ku miwendo gy’abantu kubala abantu kiweereddwa obuwumbi 40 ate kko akakiiko k’eby’okulonda kongeddwa obuwumbi 105 okwetegekera okulonda kw’omwaka 2016.

Poliisi efunye obuwumbi obulala 80 okuyamba mu kwongera ku bakozi n’okwetegekera okulonda okwa 2016

Abawandiika abantu okufuna endaga muntu bongeddwa obuwumbi 74 okuyamba ku nteekateeka eno.

Nga tuzze ku nguudo ensimbi ezisinga era zizze mu nguudo nga mu zigenda okukolebwa mwemuli olwe, Fort Portal-Kamwenge; Mukono-Kyetume-Katosi-Kisoga – Nyenga; Mpigi-Maddu-Ssembabule; Kampala Northern Bypass upgrade, Masaka – Bukakata; Villa Maria – Sembabule; Mubende – Kakumiro – Kagadi; and Mukono – Kayunga – Njeru

Eby’okwerinda:.

Amaanyi gagenda kussibwa mu by’okwerinda eby’omulembe n’okutendeka bannamaggye ng’obuwumbi  155 bwebussiddwa mu kino.

Embalirira y’eggwanga yakusakirirwa musolo gwa wano ebitundu 81 ku kikumi. Ekigendererwa kukendeeza ku buyambi.

Embalirira eno erese abantu abatali bamu nga boogera byaabwe

Minista akola ku byensimbi yobulamu mu gavumenti erinze obuyinza, Geoffrey Ekanya agamba nti embalirira eno ssi yamuntu wa bulijjo bw’otunula ku bintu ebissiddwa ku balimi

Ekanya agamba nti tewali nsonga lwaki amafuta g’ettaali, sukaali n’agemotoka byongezeddwa kubanga bikosa buli kimu.

Wabula yye minister omubeezi akola ku byenjigiriza

Chrysostom Muyingo agamba nti basanyufu nti abasomesa bongezeddwa ku kasaala kyokka nga bakusigala nga basaba era zongerwe

Yye omubaka we Kalungu mu bugwanjuba Joseph Ssewungu agamba nti musanyufu nti abasomesa bongezeddwa ku musaala.

YYye omubaka we Masaka Matthias Mpuuga agamba nti gavumenti erina kusala ku nsimbi zediibuda mu kifo ky’okunyigiriza abantu