Ebyobulamu
Amannyo g’abaana gafa bali mu lubuto
Obadde okimanyi nti amannyo g’omwana okufa oba okuba amalamu kiviira ddala ng’oli lubuto
Kino kiva ku nsonga nti abaana batandika okumera amannyo nga bakyaali mu lubuto.
Abakugu mu ndwadde z’amannyo okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago bagamba nti omukyala ng’ali lubuto, yandifubye nnyo okulaba nti erya ebintu ebitakosa mannyo g’abaana
Dr Annet Kuteesa okuva ku ddwaliroluno agamba nti abazadde basaanye okulongoosa obunnyo bw’amwana nga bwakavaayo era nga kino kikolebwa bulijjo naddala ng’aliko ky’alidde
Dr Kuteesa agamba nti n’abantu abalina abasing abatawanyizibwa ekirwadde ky’amannyo kiviira ddala mu buto.