Ebyobulamu

Ebola etuuse mu Liberia- asse musanvu

Ali Mivule

June 18th, 2014

No comments

Ebola

Obulwadde bwa Ebola butuuse mu kibuga kya Liberia ekikulu Monrovia nga bwakattayo abantu musanvu

Abantu bano beebakasooka okufa mu kibuga bukyanga bulwadde buno bubakulawo mu mawanga ga Africa ng’awasinga bubadde mu byaalo.

Ku bafudde kuliko omusawo n’abantu bana okuva mu nju eno nga kuliko ne ki bebi.

Guinea lye ggwanga lya Africa eryakasinga okukosebwa ekirwadde kya Ebola nmg’abantu 208 beebakafa bukyanga bubalukawo mu mwezi gw’okusatu.

Obulwadde bwa Ebola tebuliiko ddagala era nga bwebumu ku bwakasinga okuba obw’omutawaana mu nsi yonna.