Amawulire

Abafumbo beebasinga obwenzi- Alipoota

Ali Mivule

June 19th, 2014

No comments

HIV

Disitulikiti ye Wakiso y’esinga omuwendo gw’abakyala abali embuto nga balina akawuka mukenenya.

Abakyala 207 mu ssaabiiti emu bokka beebagenze okunywa eddagala nga balina akawuka.

Wakiso eddibwaako kampala  ng’eno abakyala b’embuto 74 beebakebeddwa nga balina akawuka

Awo Mubende y’eddako n’abakyala 42 n’endala musanvu nezigoberegana.

Muno mulimu Gulu, Kyenjojo, Luweero, Hoima Mbarara ne Mityana.

Bino byonna biri mu kunonyereza okukoleddwa akakiiko akalwanyisa mukenenya aka Uganda AIDS Commission ng’emiwendo gino gyonna gyazuuliddwa mu ssabbiiti emu.

Bw’abadde afulumya alipoota eno, akulira ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku bulwadde bwa mukenenya Musa Bungudu agambye nti kino kino kiraga nti eggwanga lyetuzze mu lutalo ku mukenenya

Ono agambye nti abakulembeze bangi basuddeyo gwa naggamba mu kusomesa abantu ku kalungi akali mu kwekuuma n’okumanya webayimiridde mu nsonga za Mukenya.

Bungudu agamba nti kyenyamiza nti n’ebifo by’ekibuga nga wakiso bikyavaamu emiwendo eminene bwegiti.

Alipoota eno enjuddwa mu lukiiko lwa bameeya bonna abali wansi w’omukago gwaabwe ku mukenenya.

Bbo ab’akakiiiko aka mukenenya aka Uganda AIDS Commission bagamba nti alipoota gyebagenda okufulumya ssabbiiti ejja eraga nti abakiristu bangi abali mu bufumbo obutukuvu era nga bajjumbira nnyo n’okusaba tebayenze woowe.

Alipoota eno eyakoleddwa ku bafumbo abawerera ddala bitaano eraga nti abantu abawangaalidde mu bufumbo, balina abakyala n’abaami ebbali.

Akulira akakiiko kano,Dr Christine Andoa agambye nti kyewunyisa nti ebikolwa nga bino ebyandibadde bibeera mu batali bafumbo ate abafumbo abatukuvu beebasinga okubiwoomerwa