Ebyobulamu

Ensimbi mu byobulamu tezimala

Ali Mivule

June 19th, 2014

No comments

hospitals a mess

Ab’ebibiina by’obwa nakyeewa abali mu byobulamu basabye palamenti ereme kuyisa mbaliira ya byabulamu ssinga tessa ssira ku kutaasa abakyala abali embuto n’abaana baabwe.

Bannakyeewa bano bagamba nti yadde ebyafulumye mu mbalirira biraga nti ebyobulamu byayongeddwaamu ssente, tekimala

Akulira ekibiina ekirwanyisa mukenenya ekya White ribbon Alliance Betty Biteyi agamba nti n’emisolo ku bintu ebikozesebwa mu byobulamu gujjibweewo kubanga guwanika ebbeeyi y’okufuna obujjanjabi

Mu ngeri yeemu atwala kawefube ow’okuziyiza bamaama okusiiga abaana baabwe obulwadde buno , Moses Kiriggwajjo agamba nti n’ensimbi ezayongeddwa ku mafuta zakukosa ebyobulamu kubanga amalwaliro agasinga gakozesa ttaala za mukono.