Ebyobulamu
Lunaku sikoseelo-obujjanjabi bubulamu
Abantu abaweza ebitundu 20 ku kikumi mu Uganda bali mu bulabe bw’okuzaala abaana abalina obulwadde bwa sikoseelo.
Kino kyeralikiriza era nga kiraga nti waliwo obweetavu bw’amalwaliro g’obulwadde buno mu ggwanga
Ng’ayogerera ku mikolo egy’okukuza olunaku luno mu nsi yonna wali ku hotel Africana, amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi agambye nti obulwadde buno ssinga bukolebwaako nga bukyaali busobola obutatta Muntu mangu n’asaba abantu okwekebeza
Ono agamba nti nga bayita mu minisitule y’ebyobulamu, bakussaawo enkola nnamutaayiika ku ngeri y’okukwatamu obulwadde buno okutaasa obulamu bw’abaana abalina obulwadde buno.
Yeebazizza abantu abatali bamu olw’okuwaayo eri ensawo y’okulwanyisa obulwadde buno era ng’awaddeyo obukadde 3 eri ensawo eno.
Olunaku luno lukuziddwa olwaleero n’omulanga eri abantu okukoma okuboola abalina obulwadde buno