Amawulire

Ngenda kwesimbawo mu 2016- Prof Bukenya

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Bukenya

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya wakwesimbawo mu mwaka 2016.

Kiddiriddeekibinka ky’abavubuka mu NRM okuzinda amaka ge enkya ya leero nga bagaala alangirire oba aneesimbawo oba nedda bategeere nga bukyaali

Bukenya agambye nti mwetegefu okwesimbawo ku lulwe ekibiina nebwekinaaba tekimuwadde bendera.

Ono azzeemu okuwera nga bw’atajja kulabikako mu kakiiko akakwasisa amateeka ku by’okuwagira omubaka Brenda Nabukenya e Luweero ng’agamba nti yali awagira mwanyina.

Bukyanga asuulibwa ku ky’okumyuuka omukulembeze w’eggwanga, prof Bukenya abadde akola bibye era nga bulijjo akikoonako nga bw’ajja okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga kyokka nga kati tewali kubuusabuusa wakukituukiriza