Amawulire

Eby’okwerinda ku palamenti bikaligiddwa- enkalala zisusse

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

queues at parliamment

Eby’okwerinda ku palamenti byongedde okukaligibwa oluvanyuma w’abavubuka okukuba poliisi akawunika nebayingiza embizzi.

Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise baakwatibwa olw’okubiri oluwedde  nga baliko obubizzi bubiri bwebasiize langi ya kyenvu nga bavumirira enguzi n’ebbula ly’emirimu.

Ababaka ba palamenti, abakozi ku palamenti n’ano abakozi mu ofiisi y’omukulembeze w’eggwanga kko n’abantu ba bulijjo balabiddwaako mu nkalala nga balinze olw’okukeberebwa okwasiddwaawo okwenjawulo.

Omwogezi wa palamenti Hellen Kaweesa agamba nti ekigendererwa kwewala kyaliwo.

Bbo ababaka ba palamenti bawadde endowooza zaabwe ku bintu nga bwebiri ku palamenti.

Twogeddeko n’ababaka okubadde Andrew Allen, Mariam Nalubega ne David Bahati abagamba nti yadde okukebera kulungi naye eky’obutabaawo kamera nakyo kireeta obuzibu.

Bano kyokka era beemulugunyizza ku ngeri y’akasoobo okukebera gyekukoleddwaamu ekirese omugotteko.

Kyo ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa kiragiddwa okunoneyereza ku ba poliisi abaliiwo ng’abavubuka bano babayitako

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ba ofiisa bano balina okunyonyola engeri abavubuka bano gyebabayitako.