Amawulire
Okunyweeza eby’okwerinda-Kaihura alambudde palamenti
Mu kawefube ow’okukakasa nti buli kimu kiri bulungi, aduumira poliisi gen Kale Kaihura olwaleero abadde mutaka ku palamenti okulambula ebintu nga bwebiri
Bino byonna biddiridde abavubukai okubuuka poliisi nebayingiza embizzi zino ku palamenti.
Kaihura agamba nti palamenti ne ofiisi ya pulezidenti bifo bikulu era ng’eby’okwerinda birina okubeera gulugulu
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okulambula, Kaihura agambye nti waliwo amabanga g’alabye mu by’okwerinda kyokka nga gajja kubikkibwa
Bbo abavuganya bagamba nti kuno kwonna kumala budde nga tewali byuuma bya mulembe ku byakwerinda
Ssabawolereza wa gavumenti erinze obuyinza Abdu Katuntu agamba nti eky’okulwaawo okussaawo ebintu nga kkamera kissa obulamu bw’ababaka n’abakozi mu kattu.