Ebyobulamu

Amawanga gasisinkanye ku Ebola

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Ebola

Ba minister b’ebyobulamu okuva mu mawanga 11 basisinkanye mu kibuga kya Ghana ekikulu Accra okutema empenda ez’okuziyizaamu obulwadde bwa Ebola okwongera okutirimbula abantu.

Obulwadde buno buli mubugwanjuba bwa Africa nga bwakatta abantu 468 ate ng’abali mu lusanvu nabo bali ku bitanda.

Obulwadde buno buli mu mawanga ga Guinea, Sierraleone ne Liberia.

Abakulu by’ebyobulamu abasisinkanye bavudde mu mawanag gano n’amalala okuli ne Uganda.

Ebola taliiko ddagala era nga buli gw’akwata alinda lw’alifa.

Mu mawanga obulwadde buno gyebuli, abaayo baweddemu essuubi nga badduse mu malwaliro nebadda ewaka oba mu masinzizo.