Amawulire
Uganda erumbibwa akadde konna- America
Poliisi ekalize eby’okwerinda ku kisaawe Entebbe oluvanyuma lwa America okulabula Uganda nti egenda kulumbibwa mu kiro kya leero
Ekiwandiiko ekivudde mu America kiraze nti abatujju bano obulumbaganyi bagenda kubukola ku kisaawe Entebbe
America era yalabudde abantu baabwe okwewala ekisaawe kino ng’egamba nti abatujju bategese kulumba wakati w’essaawa 3 ne 5 mu kiro
Kino era kyekyaviiriddeko ne poliisi ng’eri wamu n’amaggye okukeera okuzinda ekibuga oluvanyuma lw’okufuna amawulire amalala nti abatujju bano babadde bakulumba paaka ya baasi eya qualicell bus terminal
Kati yyo poliisi egamba nti kino kiyinza okulabika ng’eky’olusaago naye abatujju kirabika nga bagaala kulumba
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti abatujju bagaala kulumya abakulembeze b’abakulisitaayo abali e Munyonyo , era nga mu ngeri yeemu bagaala kukolawo akatiisa ng’empaka z’ekikopo ky’ensi yonna tezinnaggwa
Uganda yakoma okulumbibwa mu mwaka gwa 2010 abantu bwebaali balaba empaka z’akamalirizo ez’ekikopo ky’ensi yonna.
Abantu 70 beebalusuulamu akaba ate abawera nebagenda n’ebisago nga nabamu tebawonanga