Amawulire

Abasoba mu 50 battidwa e Bundibugyo,kaseese,ne Ntoroko

Ali Mivule

July 6th, 2014

No comments

 

 

Police mounts search in Kasese

 

E Kasese  abantu abasoba mu 13 bakakasidwa okuba nga batidwa ,nga bano beebamu kwabo abatidwa abakambwe abaalumbaganye district  esatu okuli Kasese , Bungibugyo ne Ntoroko  akawuungeezi akayisse.

Abagenzi kuliko Jacob Muhindo, nga ono abade muserikale , konne  Corporal Tibimanya Grace  nga kwogasse n’ab’omunjuuye basatu abaatekedwa omuliro, songa era ku kyalo ky’ekimu kuliko n’abntu abalala basatu abatidwa.

Yyo e Bundibugyo, nayo abatujju batuuseyo, nebatta abaserikale babiri ku police okuli abade akulira police eyo Mugume Bataka Wilson ne Aliga Swaibu.

Kakati Fred Enanga ayogerera police ya Uganda , atutegeezeza nti agaakafunika galaga  nga bano bwebalina akakwate ku businga Rwenzururu.

Mungeri yeemu tuwayizaamu ne Katikiro W’omusonga bwa Rwenzururu Noah Nzagale, nasambagya byogedwa police kko namagye, naagamba nti obusinga tebulina magye, kale nga ekyokuteeka obulumbaganyi buno ku Businga sikituufu, okugyako okutondawo enjawukana .

Yye ayogerera amagye ga UPDF mukitundu ky’e Rwenzoori Nishima Rwemizhuma ,atutegeezeza nti amagye ga UPDF nga gakwataganyeeko ne police basobode okuttako abalumbaganyi 42, wabula nga omuyigo gw’abo abakyabuzze  gugenda mu maaso .

Gwo omuwendo gw’abagenzi gusuubirwa okulinya akaddde konna.