Amawulire
Mu Kenya Raila Odinga ategese olukungaana gaggadde
Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu ggwanga lya Kenya bateekateeka kukuba lukungaana gaggade okulaga obutali bumativu ku by’okwerinda ebifuuse yegeyege ng’abantu ab’enjawulo bazze battibwa abamukwata mundu.
Nga bakulembeddwaamu akulira ekibiina kya CORD nga era yesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Raila Odinga, bagamba nti mu mwezi gumu gwokka abantu abasoba mu60 bebakatibwa abantu bano abatanategerekeka.
Obunkenke mu ggwanga lino bwamanyi oluvanyuma lwabatujju aba Al Shabab okwongera okulumba eggwanga lino nga bagamba nti ate kikyali kituuza.
Bano era balumiriza ghavumenti ya Jubilee ekulemberwa pulezidenti Uhuru Kenyataokulya enguzi n’okudibaga eggwanga
Ebikumi n’ebikumi byabawagizi ba CORD wowulirira bino nga batuuse dda ku kibangirizi kya t Uhuru Park ewagenda okubera olukungaana luno olutumiddwa sabasaba.