Ebyobulamu
Ebola ayongedde okusensera- omumerica assiddwa mu nkambi
Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka nga mu ggwanga lya Ghana waliwo omumerika agambibwa okuba ng’afunye obulwadde buno
Omusajja ono assiddwa mu nkambi yekka nga bwebakyagenda n’okumwekebejja
Obulwadde buno bwakatta abantu abasoba mu 460 bukyanga bubalukawo mu ggwanga lya Guinea nebutandika okubuna okutuuka mu Liberia ne Sierraleone.
Obulwadde bwa luno bwebwakasinga okutta abantu ate nga tebuliiko ddagala.