Amawulire
Bundibuggyo ssi birungi- 67 baziikiddwa mu kirindi
Emirambo gy’abamu ku bagambibwa okukola obulumbaganyi e Bundibugyo 67 giziikiddwa mu kirindi .
Kino kiddiridde ab’enganda zaabwe okugaana okugiddukira olw’okutya okukwatibwa.
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga mu bitundu bye Rwenzori Ninsiima Rwemizuma agamba nti balinze abantu okukima emirambo gyaabwe nga tebajja nabo kwekusalawo okubaziika ku ttaka lya gavumenti e Bundibuggyo.
Ebyo bibadde bikyali bityo omujaasi w’amagye ga UPDF n’asangibwa nga atiddwa ku luguudo oluva e Kasese okudda e Mbarara.
Adumira poliisi ye Kasese Michael Sabela ategezezza nga omugenzi bwategerekese nga Private Vincent Kawalina ow’ekibinja ekyokubiri nga era kigambibwa nti waliwo abatamanya ngamba abaamufumise ebyambe nebabulawo.
Sabela agambye nti okuttibw akw’omujaasi ono tekulina kakwate ku bigenda mu maaso e Bundibuggyo kubanga yye yafiiridde mu lutalo lweyafunye n’omuntu omulala gwebabadde naye mu bbaala
Abantu babiri bamaze okukwatibwa okuyambako mu kunonyereza.
Wabula yyo embeera egenda edda mu nteeko mu bitundu bye Kasese oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwabaddeyo wiiki ewedde nga bwasaasanidde ne mu disitulikiti okuli Bundibugyo ne Ntoroko.
Omubaka wa pulezidenti e Kasese Maj James Mwesigye agamba kati abasinga bagenda badda ku mirimu gyaabwe.
Ono ategezezza nga bwewatali mulumbaganyi yenna yatiddwa e Kasese nga era kiteberezebwa okuba nti abayeekera ba ADF beebakoze obulumbaganyi buno.
Wabula ye Omwogezi w’amagye g’eggwanga , Lt. Col Paddy Ankunda agamba okunonyereza kwonna kwebakakola tekusonga ku abayeekera nti balina akakwate ku bulumbaganyi buno.