Amawulire
Bannanyini masomero baddukidde mu palamenti
Ekibiina ekigatta bannanyini masomero g’obwannanyini beekubidde enduulu eri sipiika wa palamenti nga beemulugunya ku misolo egyabassibwaako mu mbalirira y’omwaka guno.
Nga bakulembeddwaamu Ssentebe waabwe John Bosco Mujumba , bano bategeezezza ng’omusolo guno bwegugenda okwongera okubanyigiriza n’abazadde ate ng’era guzza emabega ebyenjigiriza
Yye omu ku bannanyini masomero era nga munonyereza, Hasadi Kirabira agambye nti eggwanga libadde liseetuuse mu byenjigiriza kyokka nga kati lyolese okudda emabega
Mu kubaddamu wabula, sipiika Kadaga agambye nti tasobola kuyimiriza musolo guno kyokka nga wakwongera emisinde mu kwanja ensonga zaabwe
Minisita w’ebyensimbi Maria Kiwanuka yalangirira omusolo gwa bitundu 30 ku kikumi ku masomero g’obwannanyini mu mwaka gw’ebyensimbi guno.