Amawulire
Maama n’abaana amasanyalaze gabasse
Maama n’abaana be 2 bakubiddwa amasanyalaze agabatiddewo.
Omutawaana guno gugudde ku kyalo Bumutale mu disitulikiti ye Sironko nga era abatuuze beebagudde ku emirambo gyaabwe nga bakulu ba jjo.
Bano amasanyalaze gabakubye oluvanyuma lw’okukoona ku ssengenge abadde akozesebwa okubbirira amasanyalaze nga bagayisa mu muti.
Omu ku baliraanwa Sarah Namaganda ategezezza nga omukyala Anid Nabifo ow’emyaka 37 bweyawuliddwa ng’alajaana oluvanyuma lw’okukubwa amasanyalaze olwo abaana be bwebagezezaako okumutaasa, nabo negabakuba nebakalirawo.
Okusinziira ku minisita w’ebyamasanyalaze Irene Muloni abantu ebitundu asatu ku kikumi mu bitundu by’ensozi za Elgon babbirira amasanyalaze nga bangi balemeddwa okuva ku muze guno oguviiriddeko bangi okufa.