Amawulire

15 bafiiridde mu kabenje ka Baasi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu

15 bafiiridde mu kabenje ka Baasi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu

Ivan Ssenabulya

January 6th, 2023

No comments

Bya Mike Ssebalu,

Abantu 15 bafiiridde mu kabenje ka Bus ya Kampuni ya Roblyn namba UAT 259P ebadde eva Kampala okugenda Gulu.

Bus eno kigambibwa nti eyingiridde Trailer ebadde ku mabbali g’ekkubo ku luguudo luno oluva e Kampala okudda e Gulu mu kiro ekikeesezza leero.

Bino bibadde mu bitundu by’e Kamdini mu Kabuga k’e Adebe nga kano kesudde kilo mita emu yokka okutuuka ku kifo webakeberera ebidduka e Kamduni mu district eye Apac.

Ayogerera Poliisi mu bitundu bye North Kyoga Jimmy Patrick Okema, atubuulidde nti 11 bafiiriddewo ate abalala 04 bafudde batuusibwa mu dwaliro lya Atapara Hospital gyebabadde baddusiddwa okufuna obujanjabi.

Okema agamba nti abalala abatannamanyikako biboogerako bakyapookya na bisago mu malwaliro ag’enjawulo mu bitundu ebyo awagudde akabenje.

Okema agamba nti emirambo gitereddwa mu dwaliro lya Anyeke Health IV nga bwebalinda gyekebejjebwe n’oluvanyuma bagikwase ab’enganda.

Ekiviirddeko akabenje kibadde tekinategerekeka wabula ng’ebisokkokerwako byalaze nti wabaddewo enyimilira embi eri trailer ate nga tewatereddwawo bubonero bwonna bulabula bakozesa kkubo balala mu kitundu awagudde akabenje.