Amawulire

3 bafiiridde mu bubenje obwenjawulo

Ali Mivule

December 9th, 2014

No comments

accident wreckage

Abantu babiri beebafiiridde mu kabenje akagudde e Namataba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jjinja

Abagenzi babadde batambulira mu mmotoka kika kya Mark two nga bakooneddwa tuleera ebadde egezaako okusala ekkoona

Mu ngeri yeemu , omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akabadde e Nasuuti ku luguudo oludda e Kayunga.

Afudde tategerekese mannya

Ate abantu 26 basimattuse akabenje ddekabusa,oluvanyuma lwa motoka ekika kya coast number UAU  328 okunonaga ne lukululana namba KBQ -512 ng’eno ebadde eyingira kampala.

Kano akabenje kagudde mu kitoogo kye kalandazi , wabula nga abeerabideko n’agaabwe bagamba nti kavude kukuvugisa kimama, songa enkuba ebadde efudemba.

Mu kaseera kano bonna abafunye  obuvune batwaliddwa mu ddwaliro e Gombe, songa yye omugoba wa coasta adduse