Amawulire
30 bakwatiddwa e Namugongo
Poliisi ekutte abantu abasoba mu 30 e Namugongo.
Mu bano mubaddemu abasazi b’ensawo n’abatamiivu n’abambadde mu ngeri esasamaza.
Amyuka omwogezi wa poliisi, Polly Namaye agamba nti bano bagenda kuvunanibwa emisango egitali lumu bwebanatwalibwa mu kkooti olunaku lw’enkya
Namaye agamba nti wabula yadde guno bweguli, okutwaliza awamu Namugongo atambudde bulungi nga tebafunyeemu misango gya maanyi
Wabula ate waliwo omwana abuze ku bakadde be ng’agamba nti ye Dorothy Bambera okuva e Kalerwe.