Amawulire

37 bebafiira mu bubenje mu gandaaro ly’amazuukira

37 bebafiira mu bubenje mu gandaaro ly’amazuukira

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Poliisi y’ebidduka etegeezezza ng’abantu 37 bebafiiriddwa obulamu mu bubenje obwaguddewo mu gandaalo ly’amazuukira elyakomekeredde olunaku lwa mande nga 10/04/2023.

Mu bano mwemuli n’aboluganda okuva mu nyumba 2 mwenda (09) bano nga batokomokedde mu kabenje akaagudde mu district y’e Lwengo ku lunaku lwa good Friday.

Ayogerera Poliisi y’ebidduka Faridah Nampiima ategeezezza olukiiko lwa bannamawulire olwa buli sabiiti e Naguru nga  omugatte gw’obubenje 76 bwebwawandiisibwa wakati wa nga 7/04-10/4 nga ku buno 28 bwebaafiilamu abantu, 40 bwali bukambwe naye nga tebwatta bantu ate 08 bwali butonotono.