Amawulire

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2022

No comments

Bya Tom Agulini

Abakola ogwokulabirira ensasula yemisolo egyebyamaguzi, bagala ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo mu ggwanga, ekya national bureau of standards kiseewo abakozi abamala mu bifo byonna ebyensalo, kisobole okwanguyanga emirimu.

Bano nga begattira mu kibiina kyaabwe ekya Uganda Freight Forwarders customs Union Agents Association, babade mu nsisinkano nebitongole bye kikwatako, okuva mu gavumenti, wamu nabakola ku mutindo.

Omu ku baludde mu mulimu guno ogwokusasulira ebyamaguzi emisolo, Henry Baguma ategezeza nti ebifo ebimu ebye nsalo birina abakozi nga basatu, olwo nekivaako omuwendo gwebyamaguzi okubayitirirako, er anga batwaala obudde bungi nyo okusobola okubyekebejja.

Agamba nti UNBS etekedwa okugonjoola ensoonga eno, kubanga kikosa nabasubuzi, nebesanga bassasanyiza nyo, ebiseera emotoka bye zimala nga zikandaliridde ku nsalo.