Amawulire
Abalamazi 400 basimbdde okuva mu ssaza lye Lira
BYA CHARITY AKULLO
Abalamazi abali mu 400 amakya ga leero basimbudde okuva mu diocese ye Lira, basimbye kasooli okwolekera Namugango gyebagenda okwetaba mu kulama kwomwaka guno nga 3 June.
Bano bavudde mu bisomesa 20 nga bolekedde okutambula KM 300, omulabirizi we Lira Lino Wanok yabasimbudde nabasabira n’omukisa.
Francis Elia ye mukwanaganya wabalamuzi abasimbudde, abasabye bakozese okulamaga kwomwaka guno okunyweza okukiriza kwabwe.
Santa Okello, omu ku balamazi atugambye nti azze atambula okujjukira abajulizi ba Uganda okujja e Namugongo buli mwaka okusabira famile ye okubataasa ebizibu.
Omwogezi wa poliisi mu North Kyoga Jimmy Patrick Okema, asubizza abalamazi obukuumi obumala.
Olunnaku lwabajulizi lukuzibwa buli mwaka okujjukira abajulizi abattibwa ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga II, eyo mu mwaka gwa 1885.
Abessaza lye Fort Portal bebagenda okuklemberamu okulamaga kwomwaka guno, nga guvugidde ku mubala mu lunyanyimbe “Baptized and sent to witness Christ with love and hope”