Amawulire

6 bebafiiridde mu boomu, abafiiriddwa abaabwe basaasiddwa

6 bebafiiridde mu boomu, abafiiriddwa abaabwe basaasiddwa

Ivan Ssenabulya

November 16th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne Prossy Kisakye,

Poliisi ekakasiza nti abantu 6 bebafiiridde mu bulumbaganyi bwa boomu 2 ezikubiddwa mu Kampala wakati ate abalala 33 bebalumiziddwa

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ku bafudde abasatu babadde batujju ate abalala 3 babadde bantu ba bulijjo.

Enanga agambye nti emirambo 2 gya bantujju ababadde batambulira ku bodaboda wakati wékizimbe kya Raja Chambers ne Jubilee House ku luguudo lwa Parliament Avenue.

Enanga agamba nti abakugu babwe bakyakunganya bujjulizi mu bifo ebibiri awakubiddwa boomu okusobola okumanya enamba entuufu eyabakosebwa.

Wabula obulumbaganyi buno abutadde ku bayekera ba ADF abasimba amakanda mu ggwanga lya DRC

Asabye bannauganda okusigala nga begendereza kuba abakola ebikolwa bino tebatudde.

Enanga era ategezeza nga omutujju omu ategerekeseko erya Moze bwagombedwamu obwala.

Amyuka ssabaminisita owókusatu Rukia Nakadama aweereza obubaka obwókusaasira eri abénganda zábantu abafiiridwako abaabwe nábalumizidd mu bulumbaganyi bwa boomu 2 ezikubiddwa mu Kampala enkya ya leero.

Bino abyogeredde mu kugulawo olukungana olwennaku 3 olukwata ku kukubaganya ebirowoozo mulutalo olwokulwanyisa mukennenya nókujjukira omugenzi eyali omuyimbi owerinnya Philly Lutaaya eyesowolayo nalangirira nga bwarina akawuka.

Nakadama agambye nti kyenyamiza okulaba nti abatujju balumbye Uganda mu kaseera akazibu mu kulwanagana ne birwadde ebikambwe okuli covid-19 ne siriimu ebivirideko obulamu bwabantu bangi okusaanawo