Amawulire
UMEME egende-palamenti
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bakkiriziganyizza nti endagaano eyakolebwa gavumenti ne UMEME esazibweemu
Akakiiko akabadde kanonyereza ku ndagaano eno keekakola alipoota ewagira nti Umeme ebintu bigiremye ate nga ne kontulakita yenyini yagifuna mu mankweetu
Mu kukubaganya ebirowoozo okubadde okw’ebbugumu, mubaka ku mubaka bonna bategeezezza nti ng’ogyeeko ebya kontulakita n’empeereza ya UMEME sinnungi ng’ebbeeyi y’amsanyalaze eri waggulu
Twogeddeko n’abantu ba bulijjo nebategeeza nga kino bwekiri ekirungi kyokka nga kizibu okutegeera nti kyekimalawo ebizibu by’amasanyalaze