Amawulire

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

court of arms

Gavumenti eri mu kawefube w’okukyuuka mu luyimba lw’eggwanga okulwongeramu ebinnonnoggo.

Omulimu guno gwakumalawo obukadde 187 era nga gukulembeddwaamu omuyimbi era munnakatemba Alex Mukulu.

Ng’ayogerako eri bannamawulire, Mukulu agambye nti bagaala oluyimba luno owkeyongera okuwulikika obulungi n’okulwongeramu obulamu.

Oluyimba luno lwayiiyizibwa omugenzi George William Kakoma era nga lwatandika ng’eggwanga lifuna obwetwaaze.

Ku ky’okulukyuusa, ababaka ba palamenti balina endowooza za njawulo ng’abamu bakiwakanya ate abamu bagaala luvvunuulwe okudda mu lulimi olusinga okutegeerekeka wano.

Ensonga y’okukyuusa mu luyimba lw’eggwanga era tugituusizzaako ne mu bantu ba bulijjo nebatuwa endowooza zaabwe.