Amawulire
Aba biroole beediimye
Abagoba ba biroole abasoba mu 100 beebediimye nebasimba ebimotoka byaabwe ku nsalo ya Uganda ne ne Demokulatiki repabuliki ya Congo oluvanyuma lwa congo okuggala ensalo eno
Ba dereeva bano basazeewo okusimba biroole byaabwe nga bikubyeeko ebya maguzi mu kibuga kye Odianyadri mu disitulikiti ye Arua.
Ab’obuyinza e Congo baggadde ensalo yaabwe ne Uganda nebassa emisanvu mu kitundu kye Vurra
Omukungu okuva mu kitongole ekiwooza agamba nti bakyayogeraganyaamu n’ab’obuyinza mu Congo okumanya eky’okukola.
Ba dereeva abamu babadde bagaala kukozesa lyaanyi okujjawo emisanvu kyokka nga bagaaniddwa