Amawulire
Aba Bokoharam bazzeemu okulumba
Abagambibwa okubeera ab’akabinja ka Bokoharam bazzeemu buto okukola obulumbaganyi ku bakkiriza ababadde mu kkanisa nga basaba.
Ku luno abalumira mwooyo bano beefudde ng’abajaasi b’eggwanga olwo nebatandika okukuba amasasi mu bantu
Omubaka w’essaza lye Borno agamba nti yabadde yalabudde dda amaggye nti abazibu bano bandi lumba oluvanyuma lw’amaggye agamaze emyezi esatu nga gagumbye okujjibwaayo.
Bino bigenze okubaawo ng’abakulu mu maggye bakawanya ebigambibwa nti bakolagana n’abalwanyi bano mu kukola ennumba