Amawulire
Aba Buganda bakusisinkana Katikkiro
Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu bya Buganda bakusisinkana katikkiro okwongera okuteesa ku nsonga za Buganda
Ensisinkano eno yakubaawo nga 15 omwezi guno nga lwe lw’okusatu lwa ssabbiiti ejja
Ebimu ku byebagenda okwogerako y’enteekateeka yaabwe okugulira omutanda baasi , n’enkyukakyuka mu ssemateeka wa Buganda
Twogeddeko n’amyuka akulira akabondo kano omubaka Betty Nambooze n’ategeeza nga bwebagenda okusooka okusisinkanamu nga tebannasisinkan katikkiro.