Amawulire

Aba DP bagamba nti Kyagulanyi abadde wakumala biseera mu kkooti

Aba DP bagamba nti Kyagulanyi abadde wakumala biseera mu kkooti

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byóbufuzi ki Democratic Party kitendereza munnakibiina ki NUP era ngayavuganya kubwa pulezidenti mu kulonda okwakagwa, Robert Kyagulanyi okugyayo omusango mu kkooti oguwakanya obuwanguzi bwa Museveni kuba gubadde gwakumala biseera.

Kyagulanyi okuyita mu bannamteekabe yali yaddukira mu kkooti nga awakanya ebyava mu kulonda okuwedde.

Wabula olunaku lweggulo Kyagulanyi yalagidde omusango guvve mu kkoti kuba tewali bweyankanya bwagenda kufunayo.

Mu kwogerako ne bannamawulire olunaku lwaleero ku kitebe kye kibiina, omwogezi wa DP, Okoler Opio agambye nti Kyagulanyi kati bamwanirizi okubegattako bagende mu kkooti ya bantu bebanasalawo.