Amawulire
Aba DP bakubye ebituli mu alipoota ya Gavt ku bantu abazze babuzibwawo
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kyagala gavumenti yeetondere baannauganda olw’ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu ebikoleddwa ebitongole by’ebyokwerinda eby’enjawulo mu ggwanga.
Kino kiddiridde Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi okwanjula alipoota ku bantu abazze babuzibwawo eyabadde erindiddwa ennyo ab’oludda oluvuganya gavumenti.
Wabula Gen. Muhoozi yategeezezza Palamenti nti abantu abasinga abagambibwa okubuzibwawo tebaloopebwako ku poliisi era nga alipoota ezimu ziyiyizibwa bannabyabufuzi abagala okufuna ensimbi okuva mu bazungu.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kino mu Kampala, akola nga omwogezi wa DP, Ismael Kirya agambye nti alipoota eyafulumizibwa si y’ebadde esuubirwa wadde nga wabaddewo obudde n’amaanyi ebyassibwa mu kugisaba.
Agambye nti ng’abooludda oluvuganya baali baagala Gen. Muhoozi ayanjule akatambi ku Senteza agambibwa okubuuka okuva ku kabangali ya poliisi ne yesuula mu mipiira gye motoka, songa basuubidde gavumenti okubatangaaza ddi John Kibalama lwe yava mu ggwanga lino newaali awatuufu
Kirya bwatyo ategeezezza nti gavumenti bw’eba tesobola kukola kino olwo eveeyo yeetonde okusinga okuzannya obukodyo ng’alaga nti kyeyoleka lwatu nti waliwo ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu mu Uganda.