Amawulire
Aba DP bakubye ebituli mu kwogera kwa Pulezidenti
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ekiri kuludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party kikubye ebituli mu kwogera kwa Pulezidenti gye buvuddeko ku nsonga z’ebyokwerinda wakati mu bwerinde bwe bikolwa ebye kitujju
Mu kwogera kwe pulezidenti Museveni yawadde amagezi ebifo byonna eby’okusinzizaamu biwalirize abagoberezi baabyo okuleeta ebibakwatako nga tebannakkirizibwa kuyingira.
Kino kiddiridde ab’ebyokwerinda ab’awamu okutegulula boomu mukaaga mu bitundu by’ekibuga eby’enjawulo omuli e kanisa Rubaga Miracle Centre, e Bunamwaya ne Nateete.
Wabula bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti w’ekibiina ky’abavubuka, Ismael Kirya ategeezezza nti endagamuntu n’amannya bisobola okujingirirwa wano mu Uganda kale abatujju bakyasobola okuyingira emizikiti oba Amasinzizo ne batta abantu.
Agambye nti nga DP basuubira pulezidenti okulagira nti abantu bonna balina okuba n’ebyuma ebikebera ebomu ate era bateeke n’abebyokwerinda mu nkuŋŋaana zonna ez’olukale basobole okuzuula abantu abakyamu.